BugandaNyaffe Profile picture
This account is for digital marketing of the Culture & History of the people of Buganda. Ganda tribe. EST. 1300 AD. Area: 61.403 sq mi. Pop: ~12Million.

Jun 16, 2021, 7 tweets

YIGA BINO KU MMAMBA —Lung Fish (Protopterus Annectens). N’ABEDDIRA EMMAMBA,N’EBYAFAAYO!

• Emmamba erina ebiviiri (gills) wamu n’amawugwe (lungs) era kigisobozesa okussizza mu mazzi ne kulukalu.

• Emmamba erya omuddo, ebikere, amakovu n'obwennyanja obutonotono. #BugandaNyaffe

• Kubizinga by'eSsese tekugendako mmamba ekoma kumyalo kwebagiriira.

• Abbedira Emmamba bebakuuma empingu za bbeene.

• Abakazi abaganda tebalina kulya mmamba kubanga erina amabeere.

• Ebyafaayo biraga nti abbeddira Emmamba balangira abava mu ssekabaka Bbemba.#BugandaNyaffe

Nga ojjeeko nti tulina abeddira Emmamba ya GABUNGA neya KAKOBOZA naye ate emmamba zirimu emirundi era ebiri.

1. Protopterus aethiopicus (Marbled lungfish)

2. Protopterus annectens ( Tana lungfish)

Mu kika kya Gabunga mweddira esooka waggulu. Emmamba Namakaaka.#BugandaNyaffe

EMMAMBA YA GABUNGA

• Akabbiro Muguya

• Obutaka Ssagala Buwaya Busiro.

• Omubala guvuga nti "Akalya kokka kekeetenda obulyampola, ssirya mmamba Namakaaka. Gwe ndisanga mu menvu n'ebikuta alibirya" #BugandaNyaffe

• Ab'emmamba basibuka mu Ssekabaka Bemba Kabaka eyasembayo munsi nga ekyayitibwa Muwawa.

• Mutabani wa Bemba ayitibwa NDIIRA yaddukira Bugisu era muno mwemuva Gabunga.

• Jajja wa b'emmamba ono Ndiira yali akomawo e Buganda n'abaana n'abazzukulu naafiira e Kirinnya mu Busoga.

• Omusika wa Ndiira ye Mubiru era ono yatabaaza banne nebatuukako ne Bumogera (Sijja kwogera byaliyo eyo naye mutabani wa Mubiru eyitibwa Katenda yazzaayo Omusango)

• Mubiru yasitula abantube naayitira mubizinga bye Buvuma eyo gyeyaleka mutabaniwe Kisanje e maggyo.

• Yayitirako e Mangira mu kyaggwe olwo naayolekera ebizinga by'eS#sese era eyo kumpi buli kizinga yalekeyo omwana okutuusa bweyatuuka e Ssagala Buwaya.

Share this Scrolly Tale with your friends.

A Scrolly Tale is a new way to read Twitter threads with a more visually immersive experience.
Discover more beautiful Scrolly Tales like this.

Keep scrolling