HISTORY OF THE BUGANDA THRONE (NAMULONDO). — THREAD
If you searched the archives, you would discover that the first Buganda Kings never sat on the never officially sat on the distinctive throne (Namulondo) symbolic if the authority during their reign on #BugandaNyaffe.
The name ‘Namulondo’ itself wasn’t originally used in respect to the Kabaka’s throne. The name ‘Namulondo’ was was a name distinctive with girls from the Obutiko (mushroom) clan and the equivalent for boys is Mulondo.
Gwe ayagala okutegeera ebyafaayo bya 'Namulondo', tuula omukono oyegeke ettama tulukuviire ku ntono! Munange katutandikire ku Kabaka wa Buganda ow'omunaana eyali ayitibwa Nakibinge Kagali. Ng'ono yalamula Obuganda, wakati 1524 okutuusa 1554. #BugandaNyaffe
Yalina abazaana baangi naye mu bbo katunokoleyo omu yekka eyali ayitibwa Namulondo kubanga wa nkizo mu mboozi eno.
Ssekabaka Nakibinge yakisa omukono ng'ali mu lutabaalo olwali wakati wa Buganda ne Bunyoro, ku kyaalo ekiyitibwa Busajja mu 1554.
Ono yasikizibwa Mutabani we eyali omuto ddala nga wa myezi bwezi eyali ayitibwa Omulangira Mulondo ng'azalibwa omuzaana gwetwayogeddeko waggulu Namulondo.
Abasajja n'abazaana ba Kabaka mu Buganda bwebaawulira nti Buganda yali efunye Kabaka omulala, beesoomboola okuleeta amakula eri Kabaka waabwe omujja.
Wabula bwebaatuukanga embuga, nga Kabaka waabwe tebamulengera olw'okuba Kabaka yali muto era beewuunaganyanga bokka na bokka nti:
'Abaffe, Kabaka y'aliwa?'
Olw'okuba ono Kabaka Mulondo yali akyaali muto, Maama we Namulondo yamuleranga Abaganda baleme kulaba Kabaka ng'akaaba.